Joshua 22:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abagamba nti: “Muddeeyo mu weema zammwe n'entuumu y'obugagga bwammwe, n'amagana gammwe amanene ennyo, ffeeza, zaabu ekikomo, ekyuma, n'ebyambalo ebingi ennyo. Kw'ebyo bye mwanyaga ku balabe bammwe, mwawulizangako baganda bammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Ente nnyingi, ne ffeeza, ne zaabu, n’ekikomo, n’ekyuma, era n’engoye nnyingi bye munyaze ku balabe bammwe; mubigabaane ne baganda bammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abagamba nti, “Muddeyo n'ebintu bingi mu weema zammwe, n'ente nnyingi nnyo, n'effeeza, ne zaabu, n'ebikomo, n'ebyuma, n'engoye nnyingi nnyo; mugabane omunyago ogw'abalabe bammwe ne baganda bammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'asiibula ebika ebyo ng'abagamba nti: “Muddayo ewammwe nga muli bagagga nnyo: nga mulina amagana g'ente ne ffeeza, ne zaabu, n'ebikomo n'ebyuma n'engoye nnyingi. Mugabane ne baganda bammwe, ebyo bye mwanyaga ku balabe bammwe.” Awo ne baddayo ewaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abagamba nti Mukomeewo n'ebintu bingi mu weema zammwe, n'ente nnyingi nnyo, n'effeeza, ne zaabu, n’ebikomo, n'ebyuma, n'engoye nnyingi nnyo; mugabane omunyago ogw'abalabe bammwe ne baganda bammwe.