Joshua 22:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Rubeni, aba Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse, ne baawukana n'Abayisirayeli e Silo, ekiri mu Kanaani, ne baddayo, bayingire mu Gileyaadi, ensi y'obutaka bwabwe bwe baali bafunye ng'Omukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abalewubeeni n’abaana ba Gaadi n’ekitundu eky’ekika kya Manase nga bava mu baana ba Isirayiri mu Siiro ekiri mu nsi ya Kanani ne baddayo mu nsi yaabwe, mu Gireyaadi, gye baali bagabanye bo bennyini ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali okuyita mu Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne baddayo nga bava mu baana ba Isiraeri mu Siiro, ekiri mu nsi ya Kanani, okugenda mu nsi ya Gireyaadi, mu nsi ey'obutaka bwabwe, gye baalya, nga Mukama bwe yalagira okuyita mu Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse ne baddayo ewaabwe, ne baleka Abayisirayeli abalala mu Siilo, mu nsi y'e Kanaani, ne bagenda mu nsi yaabwe, ey'e Gileyaadi, gye baaweebwa okuba eyaabwe, nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne baddayo nga bava mu baana ba Isiraeri mu Siiro, ekiri mu nsi ya Kanani, okugenda mu nsi ya Gireyaadi, mu nsi ey'obutaka bwabwe, gye baalya, nga Mukama bwe yalagira mu mukono gwa Musa.