Joshua 23:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga wayise ebbanga ggwanvu ng'Omukama amaze okuwa Yisirayeli akalembereza ku balabe baabwe bonna ababeetoolodde, nga ne Yoswa akaddiye, ayise mu myaka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waayitawo ekiseera, Mukama Katonda ng’awadde Isirayiri emirembe mu njuyi zonna awaali abalabe, Yoswa ng’akaddiye ng’awangadde emyaka mingi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nga wayise ekiseera kiwanvu era nga Mukama awadde abaana ba Isiraeri okuwummula eri abalabe baabwe bonna abaali babeetooloodde, nga ne Yoswa akaddiye nnyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe waayitawo ekiseera kiwanvu, Mukama n'awonya Abayisirayeli abalabe baabwe bonna ababeetoolodde. Mu kiseera ekyo, Yoswa yali akaddiye nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ennaku nnyingi bwe zaayita Mukama bwe yawummuza Abaisiraeri mu balabe baabwe bonna abaabeetooloola, era Yoswa ng'akaddiye ng'amaze emyaka mingi;