Joshua 23:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu ati mu mmwe yagoba abalabe lukumi. Kubanga Omukama Katonda wammwe yennyini y'abalwanirira nga bwe yali asuubizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu omu ku mmwe agoba abantu lukumi, kubanga Mukama Katonda wammwe yaabalwanirira nga bwe yabasuubiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munnammwe omu anaagobanga abalabe lukumi (1,000), kubanga Mukama Katonda wammwe, yabalwanirira, nga bwe yabagamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu mu mmwe anaagobanga lukumi, kubanga Mukama Katonda wammwe ye abalwanirira, nga bwe yabasuubiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Munnammwe omu anaagobanga lukumi: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo yabalwanirira, nga bwe yabagamba.