Joshua 23:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ke mulyekyusa ne mwegatta ku b'amawanga abaasigalira mu mmwe abaawonawo, ne muwasaŋŋana nabo, ne mukolagana nabo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga bwe munaamuvaangako ne mwegattanga n’abamawanga abaasigalawo abali mu mmwe, oba ne mufumbiriganwa ne mukolagananga nabo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe mulidda emabega, ne mwegatta n'ab'amawanga ago agaasigala mu mmwe, ne mufumbiriganwa nabo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga bwe mulidda emabega, ne mwegatta n'ab'amawanga ago abaasigala mu mmwe, ne mufumbiriganwa nabo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oba nga munaddanga ennyuma n'akatono, ne mwegattanga n'amawanga gano agaasigalawo, ge gaagano agaasigala mu mmwe, ne mufumbiriganwanga nabo, ne muyingiranga gye bali, nabo (ne bayingiranga) gye muli: