Joshua 23:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mutegeererewo nti Omukama Katonda wammwe talibagoberawo mawanga gano, wabula galifuuka bitimba na nkwaso na buswanyu ku migongo gyammwe, na maggwa mu maaso gammwe, okutuusa nga muwedde mu nsi ennungi bw'eti Omukama Katonda wammwe gye yabawa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mukitegeererewo nti Mukama Katonda wammwe tagenda kweyongera kubagobamu mawanga gano, naye ganaafuukanga emitego era enkonge gye muli, embooko ezinaabakubanga mu mbiriizi, n’amaggwa aganaabafumitanga mu maaso gammwe okutuusa lwe mulizikirira mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gy’abawadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mutegeerere ddala nga Mukama Katonda wammwe taagobenga nate mawanga gano mu maaso gammwe; naye ganaabanga mutego n'ekyambika gye muli, n'oluga ku mbiriizi zammwe n'amaggwa mu maaso gammwe, okutuuka lwe mulizikirira okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gye yabawa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mutegeerere ddala nga Mukama Katonda wammwe taagobenga ba mawanga ago nga mulaba, naye banaabanga mutego n'ekyambika gye muli, n'obuswanyu mu mbiriizi zammwe, oba amaggwa mu maaso gammwe, okutuusa lwe muliggweerawo ddala mu nsi eno ennungi, Mukama Katonda wammwe gy'abawadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mutegeerere ddala nga Mukama Katonda wammwe taagobenga nate mawanga gano mu maaso gammwe; naye ganaabanga mutego n'ekyambika gye muli n'oluga ku mbiriizi zammwe n'amaggwa mu maaso gammwe, okutuuka lwe mulizikirira okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gye yabawa.