Joshua 23:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Olwa leero nzuuno nkuttte ekkubo ensi yonna ly'ekwata; Mumanyi n'omutima gwammwe gwonna nti byonna ebirungi Omukama bye yatusuubiza mpaawo kitatuukiridde. Buli kye yagamba kituukiridde, tewali kigudde butaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era kaakano nnaatera okukwata olugendo lw’abantu bonna ab’oku nsi era mumanyi n’emitima gyammwe n’emmeeme yammwe mmwe mwenna nti, Tewali kintu kyonna kitatuukiridde Mukama Katonda wammwe kye yasuubiza ekibakwatako. Byonna bibakoleddwa, tewali na kimu kiremye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mulabe nze nnaatera okufa. Mwenna mumanyi bulungi mu mitima gyammwe ne mu myoyo gyammwe, nga Mukama abawadde ebirungi byonna bye yasuubiza, buli kirungi kye yasuubiza akituukirizza. Tewali na kimu kibuzeeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mulabe, nze nnaatera okufa. Mwenna mumanyi bulungi mu mitima gyammwe ne mu myoyo gyammwe, nga Mukama abawadde ebirungi byonna bye yasuubiza. Buli kirungi kye yasuubiza akituukirizza. Tewali na kimu kibuzeeko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, leero Ogenda olugendo ebintu byonna gye bigenda: nammwe mumanyi mu mitima gya mmwe gyonna ne mu mmeeme zammwe zonna, nga tewali kigambo kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonaa bibatuukidde, tewali na kimu mu ebyo kitatuuse.