Joshua 23:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ngeri ye emu nga buli kirungi kyonna Omukama kye yasuubiza bwe kyatuukirira, era bw'atyo Omukama bw'alibaleetera buli kabi konna ke yabawerera, okutuusa ng'abazikirizza mu nsi eno ennungi Omukama Katonda wammwe gye yabawa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ng’ebintu byonna ebirungi Mukama Katonda wammwe bye yabasuubiza nga bwe bibaweereddwa, bw’atyo Mukama bw’anaabatuusangako, ebibi byonna okutuusa ng’abazikirizza okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gy’abawadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nga bwatuukiriza buli kirungi kyeyabasuubiza, bwemulijeema bwatyo Mukama bwalibatuusako buli kabi konna ke yabagamba okutuusa lwalibazikiririza ddala okuva mu nsi eno ennungi gye yabawa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nga bw'atuukirizza buli kirungi kye yabasuubiza, bw'atyo Mukama bw'alibatuusaako buli kabi konna, okutuusa lw'alibamalirawo ddala mu nsi eno ennungi gye yabawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka, ng'ebirungi byonna bwe byabajjira Mukama Katonda wammwe bye yabagamba, bw'atyo Mukama anaabaleeteranga ebibi byonna, okutuuka lw'alibazikiriza okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gye yabawa.