Joshua 23:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe mulisobya endagaano y'Omukama Katonda wammwe, gye yabalagira, ne muweereza balubaale abagwira, ne mubavunnamira, obusungu bw'Omukama bugenda kubeesererako, era mulizikirira mangu okuggwa mu nsi eno ennungi gye yabawa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe munaamenyanga endagaano ya Mukama Katonda wammwe gye yabalagira, ne mugenda ne muweerezanga bakatonda abalala ne mubavuunamiranga, obusungu bwa Mukama bunaaboolekeranga, ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi gy’abawadde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe munaasobyanga endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yabalagira, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala, ne mubafukaamirira; obusungu bwa Mukama ne bulyoka bubuubuuka ku mmwe ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi gye yabawa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mutalikuuma ndagaano Mukama Katonda wammwe gye yabalagira okukuuma, ne mugenda ne muweereza balubaale, era ne mubafukaamirira, alibabonereza mu busungu bwe, ne muggwaawo mangu mu nsi eno ennungi gy'abawadde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe munaasobyanga endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yabalagira, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala, ne mubafukaamirira; obusungu bwa Mukama ne bulyoka bubuubuuka ku mmwe ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi gye yabawa.