Joshua 23:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'ayita Yisirayeli yenna, abakadde baabwe, abakulembeze baabwe, abalamuzi baabwe, n'abaami baabwe, n'abagamba nti: “Nze nkaddiye, mpise mu myaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ayita Abayisirayiri bonna, abakadde baabwe n’abakulembeze baabwe, abalamuzi n’abakungu n’abagamba nti, “Kaakano nkaddiye era mmaze emyaka mingi;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'ayita Abaisiraeri bonna, abakulembeze be nda zaabwe, abalamuzi baabwe n'abaami baabwe, n'abagamba nti, “Nze nkaddiye nnyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyeyava ayita Abayisirayeli bonna, abakulu n'abakulembeze, n'abalamuzi, n'abakungu baabwe, n'abagamba nti: “Nze nkaddiye. Mpise mu myaka mingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'alyoka abayita Abaisiraeri bonna, abakadde baabwe n'emitwe gyabwe, n'abalamuzi baabwe n'abaami baabwe, n'abagamba nti Nze nkaddiye, mmaze emyaka mingi: