Joshua 23:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe mmwennyini mwerabiddeko n'amaaso gammwe byonna Omukama Katonda wammwe by'akoze amawanga gano gonna ku lwammwe; Omukama Katonda wammwe yennyini y'abadde abalwanirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mmwe bennyini mulabye byonna Mukama Katonda wammwe byakoze amawanga gano gonna ku lwammwe, kubanga Mukama Katonda wammwe yabalwaniridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mulabye byonna Mukama Katonda wammwe bye yabakolera ku mawanga gano gonna, kubanga Mukama Katonda wammwe oyo ye yabalwaniriranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulabye byonna Mukama Katonda wammwe by'akoze ku mawanga gonna gonna ku lwammwe. Mukama Katonda wammwe abadde abalwanirira mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nammwe mwalaba byonna Mukama Katonda wammwe bye yabakolera ku mawanga gano gonna ku lwammwe; kubanga Mukama Katonda wammwe oyo ye yabalwanira.