Joshua 23:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mujjukire, nkubye akalulu ne mbagabanyizaamu ng'obusika bw'ebika byammwe amawanga gonna agabadde gakyasigalidde, ge mawanga ge nawangula okuva ku Yorudani okutuuka ku Nnyanja Ennene ebugwanjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulabe, ngabidde ebika byammwe amawanga ago agabadde gakyasigadde, amawanga gonna ge namala okuwangula, okuva ku Yoludaani okutuuka ku nnyanja ennene ebugwanjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, mbagabidde amawanga agatannawangulwa nago agawanguddwa okuba obutaka bw'ebika byammwe, okuva ku mugga Yoludaani ebuvanjuba okutuuka ku nnyanja ennene ebugwanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi y'amawanga agakyasigaddewo, n'ey'amawanga gonna ge namala edda okuwangula, okuva ku Mugga Yorudaani mu buvanjuba, okutuuka ku Nnyanja Eyaawakati mu bugwanjuba, ngiwadde ebika byammwe okuba eyaabyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, mbagabidde amawanga gano agasigalawo, okuba obusika obw'ebika byammwe, okuva ku Yoludaani, awamu n'amawanga gonna ge nnazikiriza, okutuuka ku nnyanja ennene ku luuyi olw'ebugwanjuba.