Joshua 23:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wammwe yennyini y'alibabagoberawo; alibasindiikiriza mu maaso gammwe, mmwe ne mutwala ensi yaabwe, ng'Omukama Katonda wammwe bwe yabasuubiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda ajja kubagoba babaviire abasindiikirize okuva mu maaso gammwe mutwale ensi yaabwe nga Mukama Katonda wammwe bwe yabasuubiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Mukama Katonda wammwe aligoba amawanga ago nga mulaba, nammwe ne mutwala ensi yaabwe, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabasuubiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda wammwe alisindiikiriza ab'amawanga ago, n'abazza emabega ku lwammwe, era alibagoba nga mmwe mulaba. Mulyefuga ensi yaabwe, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabasuubiza mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Mukama Katonda wammwe ye alibasindika emberi yammwe n'abagoba mu maaso gammwe; nammwe mulirya ensi yaabwe, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabagamba.