Joshua 23:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mubanga bagumu nnyo; mukwatenga era mutuusenga byonna ebyawandiikibwa mu Kitabo ky'Etteeka lya Musa nga temuwunjukanga n'akatono kudda ku ddyo oba ku kkono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo mwegendereze nnyo okukwata n’okukola byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kya Musa eky’amateeka, obutakyama kukivaako kudda ku ddyo wadde ku kkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mwekuumenga, mukolenga byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'amateeka ga Musa, temubivangako okukyamira ku mukono ogwa ddyo ne wankubadde ogwa kkono;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale munyiikire nnyo okukwatanga n'okukolanga byonna ebyawandiikibwa mu Kitabo ky'Amateeka ga Musa, mulemenga kubivaako n'akatono,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mugume nnyo emyoyo okwekuumanga n'okukolanga byonna ebyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka ga Musa, muleme okugakyamirangamu ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono;