Joshua 23:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temwetabanga na mawanga agaasigalira mu mmwe; temukowoolanga mannya ga balubaale baabwe oba okulayiranga mu mannya gaabwe; temubaweerezanga era temubavunnamiranga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temwetabanga n’amawanga gano agasigadde mu mmwe, wadde okwogera ku mannya ga bakatonda baabwe, okulayira mu mannya gaabwe okubaweereza wadde okubavuunamira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era muleme nga kwetaba na b'amawanga gano abasigadde mu mmwe, oba okukoowoolanga amannya ga bakatonda baabwe, oba okugakozesanga nga mulayira, oba okusinza bakatonda abo, wadde okubafukaamirira;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era mulemenga kwetaba na ba mawanga gano abasigadde mu mmwe, oba okukoowoolanga amannya ga balubaale baabwe, oba okugakozesanga nga mulayira, oba okusinza balubaale abo, wadde okubafukaamirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
muleme okuyingiranga mu mawanga gano, agaasigala mu mmwe; newakubadde okwogeranga, ku linnya lya bakatonda baabwe, newakubadde okubalayizanga, newakubadde okubaweerezanga, newakubadde okubafukaamiriranga: