Joshua 23:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama abagobeddewo amawanga amanene ate ag'amaanyi; n'okutuusa ku lunaku lwa leero tewannabaawo asobola kubagumira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kubanga Mukama Katonda wammwe agobye amawanga amanene ag’amaanyi era n’okutuusa kaakano teri n’omu asobodde kubaziyiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama yagoba mu maaso gammwe amawanga amanene ag'amaanyi nga mulaba; naye mmwe, tewali muntu eyayimirira mu maaso gammwe okutuusa kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yagoba amawanga amanene era ag'amaanyi nga mulaba, era tewali muntu yayimirira mu maaso gammwe okutuusa kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama yagoba mu maaso gammwe amawanga amanene ag'amaanyi: naye mmwe, tewali muntu eyayimirira mu maaso gammwe okutuusa leero.