Joshua 24:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'akuŋŋaanya ebika bya Yisirayeli byonna e Sekemu, n'ayita abakadde n'abakulembeze, abalamuzi n'abaami ba Yisirayeli, ne beeyanjula mu maaso ga Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yoswa n’akuŋŋaanya ebika byonna ebya Isirayiri e Sekemu, n’ayita abakadde ba Isirayiri n’abakulembeze, abalamuzi era n’abakungu ba Isirayiri ne bajja babeere mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'akuŋŋaanyiza ebika byonna ebya Isiraeri mu Sekemu, n'ayita abakulembeze be nnyumba z'ebika bya baana ba Isiraeri n'emitwe gyabwe n'abalamuzi baabwe, n'abaami baabwe; ne bajja mu maaso ga Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yoswa n'akuŋŋaanya ebika ebya Yisirayeli mu Sekemu. N'ayita abantu abakulu, n'abakulembeze, n'abalanzi, era n'abakungu ba Yisirayeli. Ne bajja mu maaso ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'akuŋŋaanyiza ebika byonna ebya Isiraeri mu Sekemu, n'ayita abakadde ba Isiraeri n'emitwe gyabwe n'abalamuzi baabwe, n'abaami baabwe; ne beeraga mu maaso ga Katonda.