Joshua 24:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye saawuliriza Balaamu, wabula ate yabasabira mikisa ku mikisa, ne mbawonya mu mikono gye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye Balamu saamuwuliriza, n’abawa buwi mukisa emirundi n’emirundi. Bwe ntyo ne mbanunula mu mukono gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye ne ŋŋaana okuwulira Balamu; kyeyava abasabira omukisa nate, bwe ntyo ne mbawonya mu mukono gwa Balaki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ne ŋŋaana okuwuliriza ebya Balamu, kyeyava abasabira omukisa. Bwe ntyo ne mbawonya Balaki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ne ŋŋaana okuwulira Balamu; kyeyava abasabira omukisa nate: bwe ntyo ne mbawonya mu mukono gwe.