Joshua 24:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ne musomoka Yorudani ne mujja e Yeriko; abatuuze b'omu kibuga ekyo ne babalwanyisa, n'Abaamori, Abaperizzi, Abakanaani, Abakitti, Abagirugasi, Abakivi n'Abayebusi; era bonna ne mbawaayo mu mikono gyammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Ne musomoka omugga Yoludaani ne mutuuka e Yeriko. Abantu b’omu Yeriko awamu n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abagirusi, n’Abakiivi, n’Abayebusi ne babalwanyisa naye ne mbagabula mu mukono gwammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne musomoka Yoludaani, ne mutuuka ku Yeriko, n'ab'e Yeriko ne balwana nammwe, Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi; ne mbabawa ne mubawangula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne musomoka Omugga Yorudaani, ne mutuuka e Yeriko. Abantu b'e Yeriko ne babalwanyisa, ng'Abaamori, n'Abaperizi, n'Abakanaani, n'Abahiiti, n'Abagirugaasi, n'Abahiivi, n'Abayebusi bwe baakola. Naye ne mbawa mmwe okubawangula abo bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne musomoka Yoludaani, ne mutuuka ku Yeriko: n'ab'e Yeriko ne balwana nammwe, Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi; ne mbawa mu mukono gwammwe.