Joshua 24:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nasindika ennumba ne zibakulemberamu, ne zigenda nga zibagobawo mu maaso gammwe. Ne zigoba ne bakabaka Abaamori bombi; si na kitala kyo, wadde akasaale ko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ntuma ennumba ezabakulembera ezagoba abalabe bammwe mu maaso gammwe, nga mwe muli bakabaka ababiri Abamoli; si mmwe mwakikola n’ekitala kyammwe wadde obusaale.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ntuma ennumba mu maaso gammwe, ne bagoba mu maaso gammwe bakabaka bombi ab'Abamoli; si na kitala kyo newakubadde omutego gwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mwali nga mutuuka, ne ndeeta mu bantu abo entiisa n'egoba bakabaka bombi ab'Abaamori. Tebyali bitala byammwe, wadde emitego gyammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ntuma ennumba mu maaso gammwe, n'ebagoba mu maaso gammwe bakabaka bombi ab'Abamoli; si na kitala kyo newakubadde omutego gwo.