Joshua 24:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye obanga okuweereza Omukama tekibasanyusa, olwa leero mweronderewo gwe mwagala okuweereza, oba balubaale bajjajjammwe be baaweerezanga emitala w'omugga, oba balubaale b'Abaamori bannannyini nsi gye mulimu. Naye nze n'ennyumba yange tujja kuweerezanga Mukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe muba temwagala kuweereza Mukama, mulondeewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda babajjajjammwe abaali emitala w’omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Abamoli, bannannyini nsi mwe muli. Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oba nga mulowooza nga kibi okuweerezanga Mukama, mulonde leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda bajjajjammwe abaali emitala w'Omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab'Abamoli, bannannyini nsi mwe muli; naye nze n'ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era oba nga temwagala kumuweerezanga, mulondeewo olwaleero gwe munaaweerezanga: oba balubaale, bajjajjammwe be baaweerezanga mu Mesopotaamiya, oba balubaale b'Abaamori, ab'omu nsi gye mulimu kaakati. Naye nze n'ab'omu nnyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba nga mulowooza nga kibi okuweerezanga Mukama, mulonde leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda bajjajjammwe abaali emitala w'Omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab'Abamoli, bannannyini nsi mwe muli: naye nze n'ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.