Joshua 24:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga yali Mukama Katonda waffe eyatuggya, ffe ne bajjajjaffe, mu nsi y'e Misiri, ennyumba y'obuddu, eyakola obubonero obwo obw'amaanyi nga naffe tulaba. Yatukuuma mu lugendo lwonna ne mu mawanga gonna ge twayitamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda waffe ye yatuggya ffe ne bajjajjaffe mu Misiri mu nsi ey’obuddu, n’akola ebyewuunyo eby’ekitalo nga tulaba, n’atukuuma mu kkubo lyonna ne mu mawanga gonna ge twayitamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga Mukama Katonda waffe, oyo ye yatulinnyisa ffe ne bajjajjaffe okutuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu, era ye yakola obubonero buli obunene mu maaso gaffe, n'atukuuma mu kkubo lyonna lye twayitamu, ne mu mawanga gonna ge twayitangamu wakati;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda waffe ye yatuggya ffe ne bajjajjaffe mu buddu mu nsi y'e Misiri, ne tulaba ebyewuunyo bye yakola. Yatukuuma wonna gye twagendanga mu mawanga gonna ge twayitangamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga Mukama Katonda waffe, oyo ye yatulinnyisa ffe ne bajjajjaffe okutuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu, era ye yakola obubonero buli obunene mu maaso gaffe, n'atukuuma mu kkubo lyonna lye twayitamu, ne mu mawanga gonna ge twayitangamu wakati: