Joshua 24:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye Omukama n'atugoberawo amawanga gonna, omwali n'Abaamori abaabeeranga mu nsi. Naffe tujja kuweereza Mukama, kubanga ye Katonda waffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’agoba amawanga gonna mu maaso gaffe nga mwe muli Abamoli, abaali mu nsi. Naffe kyetunaava tuweerezanga Mukama Katonda, kubanga ye Katonda waffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agobamu amawanga gonna mu maaso gaffe, Abamoli abaali mu nsi; era naffe kyetunaava tuweereza Mukama; kubanga ye Katonda waffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe twali nga tujja mu nsi eno, Mukama n'agobamu Abaamori bonna abaagirimu. N'olwekyo tunaaweerezanga Mukama, kubanga ye Katonda waffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agobamu amawanga gonna mu maaso gaffe, Abamoli abaali mu nsi: era naffe kyetunaava tuweereza Mukama; kubanga ye Katonda waffe.