Joshua 24:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'agamba abantu nti: “Temujja kusobola kuweeereza Mukama, kubanga ye Katonda mutuukirivu, Katonda ow'obuggya; tagenda kubasonyiwa nsobi zammwe na bibi byammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’agamba abantu nti, “Kizibu okuweereza Mukama, kubanga Katonda mutukuvu, Katonda wa buggya, taasonyiwenga bujeemu bwammwe newaakubadde ebibi byammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'agamba abantu nti, “Temuyinza kuweerezanga Mukama; kubanga ye Katonda omutukuvu; ye Katonda ow'obuggya; taasonyiwenga kwonoona kwammwe newakubadde ebibi byammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'agamba abantu nti: “Naye muyinza okulemwa okuweereza Mukama. Ye ye Katonda, era mutuukirivu. Kale taasonyiwenga bibi byammwe. Tagenda kukkiriza kuvuganyizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'agamba abantu nti Temuyinza kuweerezanga Mukama; kubanga ye Katonda omutuukuvu; ye Katonda ow'obuggya; taasonyiwenga kwonoona kwammwe newakubadde ebibi byammwe.