Joshua 24:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'ayogera eri abantu bonna nti: “Kino ky'agamba Omukama Katonda wa Yisirayeli: ‘Edda ennyo bajjajjammwe, nga Tera kitaawe wa Yiburayimu, ne Nakori, baabeeranga mitala w'omugga; baaweerezanga balubaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’agamba abantu bonna nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Edda ennyo bajjajjammwe nga mulimu ne Teera kitaawe wa Ibulayimu baabeeranga emitala w’omugga Fulaati, gye basinzizanga bakatonda abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'agamba abantu bonna nti, “Mukama, Katonda wa Isiraeri agamba nti, ‘Edda bajjajjammwe baabeeranga emitala w'Omugga Fulaati, Teera, kitaawe wa Ibulayimu era kitaawe wa Nakoli; ne basinzanga bakatonda abalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'agamba abantu bonna nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Edda bajjajjammwe baabeeranga emitala w'Omugga Ewufuraate, ne basinzanga balubaale. Omu ku bajjajjammwe abo, ye Teera, kitaawe wa Aburahamu ne Nahori.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'agamba abantu bonna nti Mukama, Katonda wa Isiraeri, bw'ayogera bw'ati nti Bajjajjammwe baabeera mu biro eby'edda emitala w'Omugga, Teera, kitaawe wa Ibulayimu era kitaawe wa Nakoli: ne baweereza bakatonda abalala.