Joshua 24:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe kalibatanda ne muleka Omukama, ne muweereza balubaale abagwira, agenda kwekyusa ababonyeebonye, abasaanyeewo, sso ng'amaze okubakolera ebirungi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obanga munaalekanga Mukama, ne muweerezanga bakatonda abalala, alibakyukira n’abazikiriza n’abamalawo ate nga bulijjo abadde abayisa bulungi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe munaamuvangako ne muweereza bakatonda abalala, anaabakyukiranga mmwe, n'ababonereza, alibazikiriza, newakubadde nga yasooka kubakolera birungi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe munaamuvangako ne muweereza balubaale, anaabakyukiranga mmwe, n'ababonereza. Alibazikiriza, newaakubadde nga yasooka kubakolera birungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba nga munaalekanga Mukama, ne muweerezanga bakatonda abaggya, n'alyoka akyuka n'abakola obubi, n'abazikiriza, ng'amaze okubakola obulungi.