Joshua 24:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'agamba abantu nti: “Mmwe mwennyini muli bajulirwa b'ebigambo byammwe nga mulonze kuweerezanga Mukama.” Ne baddamu nti: “Tuli bajulirwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’agamba abantu nti, “Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonzeewo kuweerezanga Mukama Katonda.” Ne boogera nti, “Tuli bajulirwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'agamba abantu nti, “Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonze Mukama okumuweerezanga.” Ne boogera nti, “Tuli bajulirwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'abagamba nti: “Muli bajulirwa bammwe mwennyini nga mulonzeewo kuweerezanga Mukama.” Ne bagamba nti: “Tuli bajulirwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'agamba abantu nti Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonze Mukama okumuweerezanga. Ne boogera nti Tuli bajulirwa.