Joshua 24:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Kale nno mweggyemu balubaale abagwira be mulina mu mmwe; emitima gyammwe mugiwunzikire eri Omukama Katonda wa Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Kale muggyeewo bakatonda abalala abali wakati mu mmwe, era emitima gyammwe mugizze eri Mukama Katonda wa Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale kaakano muggyeewo bakatonda abalala abali mu mmwe, mukyuse omutima gwammwe eri Mukama, Katonda wa Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Kale kaakano muggyeewo balubaale abagwira be mulina. Mukyusize ddala emitima gyammwe eri Mukama, Katonda wa Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kaakano muggyeewo bakatonda abaggya abali mu mmwe, mukyuse omutima gwammwe eri Mukama Katonda wa Isiraeri.