Joshua 24:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebintu bino n'abiwandiika mu Kitabo ky'Etteeka lya Katonda. Awo n'addira ejjinja eddene n'alitereeza wansi w'omuvule ogwali okumpi n'ekifo ky'Omukama ekitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’awandiika ebintu bino mu kitabo ky’amateeka ekya Katonda, n’atwala ejjinja eddene ennyo n’aliteeka wansi w’omwera ogwali mu kifo kya Mukama Katonda ekitukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'awandiika ebigambo ebyo mu kitabo eky'amateeka ga Katonda; n'atwala ejjinja eddene, n'alisimba awo wansi w'omwera ogwali mu kifo ekitukuvu ekya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'awandiika ebigambo ebyo mu Kitabo eky'Amateeka ga Katonda. N'atwala ejjinja eddene, n'alisimba awo wansi w'omuvule mu kifo ekitukuvu ekya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'awandiika ebigambo ebyo mu kitabo eky'amateeka ga Katonda; n'atwala ejjinja eddene, n'alisimba awo wansi w'omwera ogwali ku kifo ekitukuvu ekya Mukama.