Joshua 24:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba abantu bonna nti: “Mulabe ejjinja lino. Ligenda kutulumiriza ffe; liwulidde ebigambo byonna eby'Omukama by'atugambye. Liribalumiriza bwe mulyegaana Omukama Katonda wammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’agamba abantu nti, “Mulabe ejjinja lino lijja kubeeranga omujulizi gye tuli, liwulidde ebigambo byonna Mukama Katonda bya tugambye. Era lijja kubeeranga omujulizi gye muli bwe mutaabeerenga beesigwa eri Katonda wammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'agamba abantu bonna nti, “Laba, ejjinja lino linaabanga mujulirwa gyetuli; kubanga liwulidde ebigambo byonna ebya Mukama by'atugambye; kyerinaavanga libeera mujulirwa gyetuli, muleme okwegaana Katonda wammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba abantu bonna nti: “Ejjinja lino linaabanga mujulirwa waffe, kubanga liwulidde ebigambo byonna Mukama by'atugambye; kyerinaavanga liba omujulirwa abalumiriza mmwe, mulemenga okwegaana Katonda wammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'agamba abantu bonna nti Laba, ejjinja lino linaabanga mujulirwa gye tuli; kubanga liwulidde ebigambo byonna ebya Mukama by'atugambye: kyelinaavanga libeera mujulirwa gye tuli, muleme okwegaana Katonda wammwe.