Joshua 24:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma, Yoswa mutabani wa Nuunu omuweereza w'Omukama, n'afa: yali wa myaka kikumi mu kkumi egy'obukulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Mukama, n’afa ng’awezezza emyaka kikumi mu kkumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma lw'ebyo Yoswa omwana wa Nuuni, omuweereza wa Mukama, n'alyoka afa, ng'awangadde emyaka kikumi mu kkumi (110).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, omuweereza wa Mukama, Yoswa mutabani wa Nuuni, n'afa ng'awangadde emyaka kikumi mu kkumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma lw'ebyo Yoswa omwana wa Nuni, omuweereza wa Mukama, n'alyoka afa, ng'amaze emyaka kikumi mu kkumi.