Joshua 24:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ne nzigya kitammwe Yiburayimu mu nsi y'emitala w'omugga, ne mmuleeta, ne mmuyisa mu nsi yonna eya Kanaani, ne mmuwa ezzadde ddene. Namuwa Yizaake,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndyoka nziggya jjajjammwe Ibulayimu emitala w’omugga, ne mmukulembera okumuyisa mu nsi ye Kanani, ne mmuwa Isaaka, ne mwongerako ezzadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ntwala jjajjammwe Ibulayimu ne mmuggya emitala w'Omugga, ne mmuleeta mu nsi yonna eya Kanani, ne njaza ezzadde lye, ne mmuwa Isaaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu jjajjammwe ne mmuggya emitala w'Omugga ogwo Ewufuraate, ne mmuyisa mu nsi yonna ey'e Kanaani, ne njaza ezzadde lye, ne mmuwa Yisaaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ntwala jjajjammwe Ibulayimu ne mmuggya emitala w'Omugga, ne mmuleeta mu nsi yonna eya Kanani, ne nnyongera ezzadde lye, ne mmuwa Isaaka.