Joshua 24:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Eleyazari mutabani wa Aroni n'afa, n'aziikibwa e Gibewa, ekibuga ekyali kiweereddwa mutabani we Finekasi, mu nsozi za Efurayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriyazaali mutabani wa Alooni naye n’afa, n’aziikibwa ku lusozi Gibea olwaweebwa Finekaasi mutabani we, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eriyazaali mutabani wa Alooni n'afa, ne bamuziika e Gibeya, ekibuga kya mutabani we Finekaasi, ekyamuweebwa mu nsi ya Efulayimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eleyazaari mutabani wa Arooni n'afa, ne bamuziika e Gibeya, ekibuga kya mutabani we Finehaasi, ekyamuweebwa mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eriyazaali omwana wa Alooni n'afa; ne bamuziika ku lusozi lwa Finekaasi omwana we, lwe yaweebwa mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu.