Joshua 24:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yizaake ne mmuwa Yakobo ne Ezawu. Ezawu namuwa ensozi za Seyiri azitwale. Ye Yakobo n'abaana be ne bakkirira e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isaaka ne mmuwa Yakobo ne Esawu. Esawu ne mmuwa ensi ey’ensozi eya Seyiri. Naye Yakobo n’abaana be ne mbatwala e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isaaka n'amuwa Yakobo ne Esawu; ne mpa Esawu Seyiri ensi ey'ensozi okuba eyiye; Yakobo n'abaana be ne baserengeta mu Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisaaka ne mmuwa Yakobo ne Esawu. Ne mpa Esawu ensi Seyiri ey'ensozi okuba eyiye. Naye Yakobo n'abaana be, ne baserengeta e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mpa Isaaka Yakobo ne Esawu: ne mpa Esawu olusozi Seyiri, okululya; Yakobo n’abaana be ne baserengeta mu Misiri. Ne ntuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Misiri, ng'ebyo bwe byali bye nnakola wakati waayo, oluvannyuma ne mbaggyamu.