Joshua 24:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ne ntuma Musa ne Aroni, ne mbonereza Abamisiri ne bye nakolayo; oluvannyuma ne mbaggyayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Natuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Abamisiri n’ebibonoobono bye nabakola, oluvannyuma abaana ba Yakobo ne mbaggyayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma nnentuma Musa, ne mbonyaabonya Misiri mu ebyo bye n'akolerayo, ne ndyoka mbaggyayo mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluvannyuma ne ntuma Musa, ne mbonyaabonya Misiri mu ebyo bye nakolerayo, ne ndyoka mbaggyayo mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ntuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Misiri, ng'ebyo bwe byali bye nnakola wakati waayo: oluvannyuma ne mbaggyamu.