Joshua 24:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bakowoola Omukama abayambe; n'aleeta enzikiza wakati wammwe n'Abamisiri, n'akomyawo ennyanja n'ababuutikira. Mwalabirako ddala n'amaaso gammwe bye nakola Abamisiri. Oluvannyuma mwabeera mu ddungu ebbanga ggwanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bajjajjammwe bwe baakaabirira Mukama Katonda abayambe, nateeka ekizikiza wakati wammwe n’Abamisiri; Abamisiri n’abayiwako ennyanja n’ebabuutikira. Amaaso gammwe ne galaba kye nakola Abamisiri; ne mutambulira mu ddungu okumala ebbanga ddene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bajjajjammwe ne bankoowoola nze Mukama mbayambe. Nnenteekawo ekizikiza wakati waabwe n'Abamisiri. Nnenteekawo ekkubo mu nnyanja, bajjajjammwe ne bayitawo, Abamisiri bwe baabawondera ne mbazikiririza mu nnyanja, ne mbasanyawo; era mwalaba na maaso gammwe bye nnakola mu Misiri; era mwamala ennaku nnyingi nnyo mu ddungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bankoowoola, Nze Mukama, mbayambe. Ne nteekawo ekizikiza wakati waabwe n'Abamisiri. Abamisiri ne mbayiwako ennyanja ne mbasaanyaawo. Mumanyi bye nakola ku Misiri. “ ‘Mwamala ekiseera kiwanvu mu ddungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baamukoowoola Mukama, n'assaawo ekizikiza wakati wammwe n'Abamisiri, n'abaleetako ennyanja, n’abasaanikira; n'amaaso gammwe gaalaba bye nnakola mu Misiri: nammwe ne mumala ennaku nnyingi mu ddungu.