Joshua 24:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mbaleeta mu nsi y'Abaamori abaabeeranga emitala wa Yorudani. Baabalwanyisa, naye ne mbabawa mu mikono gyammwe, ne mbazikiriza mu maaso gammwe, ensi yaabwe ne mugitwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Nabaleeta mu nsi ey’Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, ne babalwanyisa, ne mbagabula mu mukono gwammwe. Ne nzikiriza Abamoli okubamalawo mu maaso gammwe ensi yaabwe ne ngigabira mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mbaleeta mu nsi ey'Abamoli, abaali ku ludda olw'ebuvanjuba olw'omugga Yoludaani; ne balwana nammwe, ne mbawa mwe okubawangula ne mutwala ensi yaabwe, ne mbazikiririza ddala mu maaso gammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne mbaleeta mu nsi y'Abaamori, abaali ku ludda olw'ebuvanjuba olw'Omugga Yorudaani. Ne babalwanyisa mmwe. Naye mmwe ne mbawa okubawangula, ne mwefuga ensi yaabwe, bo ne mbazikiriza nga mmwe mulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mbaleeta mu nsi ey'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani; ne balwana nammwe: ne mbawa mu mukono gwammwe, n'ensi yaabwe ne mugirya; ne mbazikiriza mu maaso gammwe: