Joshua 24:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balaki mutabani wa Zippori, kabaka wa Mowabu, bwe yasituka okulwanyisa Yisirayeli, yatumya Balaamu mutabani wa Bewori ajje abavumirire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balaki mutabani wa Zipoli, kabaka wa Mowaabu, bwe yasituka okulwanyisa Isirayiri, n’atumya Balamu mutabani wa Byoli abakolimire;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Balaki omwana wa Zipoli, kabaka wa Moabu, n'agolokoka n'alwana ne Isiraeri; n'atuma n'ayita Balamu omwana wa Byoli okubakolimira,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka w'e Mowaabu, Balaki mutabani wa Zippori, n'abalwanyisa mmwe Abayisirayeli. N'atumya Balamu mutabani wa Bewori, n'amusaba okubakolimira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Balaki omwana wa Zipoli, kabaka wa Moabu, n'agolokoka n'alwana ne Isiraeri; n'atuma n’ayita Balamu omwana wa Byoli okubakolimira: