Joshua 3:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu matulutulu, Yoswa bwe yazuukuka, ye n'Abayisirayeli bonna ne basitula, ne bava e Sittimu, ne batuuka ku Yorudani ne basula awo nga tebannasomoka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu makya ennyo Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bagolokoka okuva e Sittimu, bwe baatuuka ku mugga Yoludaani ne basooka balindirira awo nga tebannagusomoka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka, ne bava mu Sittimu, ne batuuka ku Yoludaani, ye n'abaana ba Isiraeri bonna; ne basulawo nga tebannasomoka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwaddirira, Yoswa n'Abayisirayeli baakeera mu makya, ne bava mu Sittimu, ne batuuka ku Yorudaani, ne basiisira awo nga tebannasomoka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka, ne bava mu Sittimu, ne batuuka ku Yoludaani, ye n'abaana ba Isiraeri bonna; ne basulawo nga tebannasomoka.