Joshua 3:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayongera nti: “Ku kino kwe munaamanyira nga Katonda omulamu ali mu makkati gammwe, nti ddala agenda kubagoberawo mu maaso gammwe Abakanaani, Abakitti, Abakivi, Abaperizzi, Abagirugasi, Abaamori n'Abayebusi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwa leero mugenda okutegeera nti Katonda omulamu ali mu mmwe, kubanga anaagobera ddala Abakanani, n’Abakiiti, n’Abakiivi, n’Abaperezi, n’Abagirugaasi, n’Abamoli, n’Abayebusi mmwe nga mulaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'ayogera nti, “Ku kino kwe munaamanyira nga Katonda omulamu ali mu mmwe, era nga talirema kugoba mu maaso gammwe Abakanani, n'Abakiiti, n'Abakiivi, n'Abaperizi, n'Abagirugaasi, n'Abamoli, n'Abayebusi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku kino kwe munaategeerera nga Katonda Nnnannyinibulamu ali mu mmwe, era nga talirema kugoba Bakanaani na Bahiiti na Bahiivi na Baperezi, na Bagirugaasi, na Baamori, na Bayebusi mmwe nga mulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'ayogera nti Ku kino kwe munaamanyira nga Katonda omulamu ali mu mmwe, era nga talirema kugoba mu maaso gammwe Abakanani, n'Abakiiti, n'Abakiivi, n'Abaperizi, n'Abagirugaasi, n'Abamoli, n'Abayebusi.