Joshua 3:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutegeke abasajja kkumi na babiri mu bika bya Yisirayeli, omu mu buli kika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno mulonde abasajja kkumi na babiri okuva mu bika bya Isirayiri nga buli kika mulondamu omu omu:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano mwerondere abasajja kkumi na babiri (12) mu bika bya Isiraeri, buli kika omu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano mulonde abasajja kkumi na babiri, omu omu okuva mu buli kika kya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kaakano mwerondere abasajja kkumi na babiri mu bika bya Isiraeri, buli kika omu.