Joshua 3:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona abatwala Ssanduuku y'Omukama, Omukama w'ensi yonna, olunaalinnya ekigere mu mazzi ga Yorudani, amazzi agakulukuta okuva engulu gajja kusalwako, geetuume ng'entuumu”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama w’ensi zonna, olunaalinnya ebigere byabwe mu mugga Yoludaani, amazzi agabadde gakulukuta gonna ganaayimirira ne geetuuma.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo, ebigere bya bakabona abasitula essanduuko ya Mukama, Mukama w'ensi zonna bwe biribeera mu mazzi ga Yoludaani, amazzi ga Yoludaani ne galyoka gayimirizibwa okukulukuta, amazzi agava engulu; ne gayimirira entuumu wamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama bwe banaalinnya mu mazzi, Omugga Yorudaani gujja kulekera awo okukulukuta, amazzi agava engulu, geetuume wamu entuumu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Owo, ebigere bya bakabona abasitula essanduuko ya Mukama, Mukama w'ensi zonna bwe biribeera mu mazzi ga Yoludaani, amazzi ga Yoludaani ne galyoka gaggwaawo, ge mazzi agava engulu; ne gayimirira entuumu wamu.