Joshua 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona abasitudde Ssanduuku bwe baatuuka ku Yorudani, olwalinnya amala g'ebigere byabwe bati ku lubalama lw'amazzi, [Yorudani guba gwaladde ku lubalama lwagwo lwonna mu budde bwonna obw'amakungula],
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omugga Yoludaani gwanjaala mu kiseera eky’amakungula kyonna. Mu kiseera ekyo bakabona abasitudde Essanduuko we baalinnyira ebigere byabwe ku Yoludaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era abaasitula essanduuko bwe baatuuka ku Yoludaani, ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ne byennyika ku mabbali g'amazzi (kubanga Yoludaani gwanjaala ku ttale lyagwo lyonna mu biro byonna eby'amakungula),
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona abo abasitudde Essanduuko bwe baatuuka ku Yorudaani, ne balinnya mu mazzi gaagwo agaali gaaladde ku mbalama zaagwo zonna mu biseera byonna ebyo eby'amakungula,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era abaasitula essanduuko bwe baatuuka ku Yoludaani, ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ne byennyika ku mabbali g'amazzi (kubanga Yoludaani gwanjaala ku ttale lyagwo lyonna mu biro byonna eby'amakungula,)