Joshua 3:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
amazzi ag'engulu ne galekeraawo okukulukuta, ne geetuuma ng'entuumu wala nnyo awali ekibuga Adamu ekiri okumpi ne Zaretani; naye go amazzi ag'emmanga agakkirira mu nnyanja ya Araba, kwe kugamba nti Ennyanja ey'Omunnyo, ne gasalirwako ddala. Abantu ne basomoka nga boolekedde Yeriko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago amazzi agaali gakulukuta ne gayimirira ne geetuuma eri ewala okuliraana ekibuga Adamu ku ludda lwa Zaresaani. N’ago agaali gaserengeta okweyiwa mu Araba Ennyanja ey’Omunnyo ne gasalikako, abantu ne basomokera Yoludaani ku ttaka ekkalu, mu maaso ga Yeriko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
amazzi agaava engulu ne galyoka gayimirira ne getuuma entuumu wamu, wala nnyo, ku Adamu, ekibuga ekiriraanye e Zalesani; n'ago agakka ku nnyanja ey'e Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, ne gaggweerawo ddala, abantu ne basomokera awaliraanye e Yeriko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
amazzi agava engulu ne galekera awo okukulukuta, ne geetuuma wamu entuumu, ebbanga ddene, okuviira ddala ku Adamu ekibuga ekiriraanye Zaretaani. Ago agakkirira ku Nnyanja ey'e Araba, ye Nnyanja ey'Omunnyo, ne gaggweerawo ddala, abantu ne basomokera okumpi ne Yeriko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
amazzi agaava engulu ne galyoka gayimirira ne geekuma entuumu wamu, wala nnyo, ku Adamu, ekibuga ekiriraanye e Zalesani: n'ago agakka ku nnyanja eye Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, ne gaggweerawo ddala: abantu ne basomokera awaliraanye e Yeriko.