Joshua 3:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona abaali beetisse Ssanduuku y'Endagaano ey'Omukama, ne bayimirira ku ttaka nga kkalu mu makkati ga Yorudani, okutuusa ng'abantu bonna bamaze okukutula Yorudani ku ttaka ekkalu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama ne bayimirira wakati mu Yoludaani awatakyali mazzi okutuusa Abayisirayiri bonna lwe baasomoka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama ne bayimirira ne banywera ku lukalu wakati mu Yoludaani, n'Abaisiraeri bonna ne bayita awakalu, okutuusa eggwanga lyonna lwe lyayitira ddala mu Yoludaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bonna ne bayita awakalu, nga bakabona abasitudde Essanduuko ey'Endagaano bayimiridde awakalu wakati mu Mugga Yorudaani, okutuusa eggwanga lyonna lwe lyamala okusomoka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)