Joshua 3:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mulyoke mumanye ekkubo ery'okukwata, kubanga n'okutuusa kati temuliyitangamu. Wakati wammwe n'Essanduuku wabeerewo ebbanga nga lya mikono enkumi bbiri; mwekkaanye: temugeza ne mugisemberera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga lino ekkubo temuliyitangamu. Naye wakati wammwe nayo, mulekawo ebbanga nga lya fuuti enkumi ssatu muleme okugisemberera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye wanaabaawo ebbanga wakati wammwe nayo, ng'emikono enkumi bbiri (2,000) egigerebwa, temugisemberera, mulyoke mumanye ekkubo eribagwanidde okuyitamu; kubanga okutuuka kaakano temunnayita mu kkubo lino.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mulyoke mumanye ekkubo lye mugwanidde okukwata, kubanga ekkubo lino mubadde temuliyitangamu. Naye Essanduuko ey'Endagaano temugisemberera. Munaalekawo ebbanga lya kilomita ng'emu wakati wammwe nayo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye wanaabaawo ebbanga wakati wammwe nayo; ng'emikono enkumi bbiri gigerebwa: temugisemberera, muyoke mumanye ekkubo eribagwanidde okuyitamu; kubanga okutuuka kaakano temunnayita mu kkubo lino.