Joshua 3:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma Yoswa n'agamba bakabona nti: “Musitule Ssanduuku y'Endagaano musomoke nga mukulembeddemu abantu.” Ne basitula Ssanduuku y'Endagaano, ne bakulemberamu abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate Yoswa n’agamba bakabona nti, “Musitule Essanduuko era mukulemberemu abantu babagoberere.” Bakabona nabo ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'agamba bakabona, ng'ayogera nti, “Musitule essanduuko ey'endagaano, musomoke mukulembere abantu.” Ne basitula essanduuko ey'endagaano n'ebakulembera abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'agamba bakabona nti: “Musitule Essanduuko ey'Endagaano, mukulemberemu abantu.” Ne bagisitula, ne bakulemberamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'agamba bakabona, ng'ayogera nti musitule essanduuko ey'endagaano, musomoke mukulembere abantu. Ne basitula essanduuko ey'endagaano n'ebakulembera abantu.