Joshua 3:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Yoswa nti: “Ntandise n'olwa leero luno okukugulumiza mu maaso ga Yisirayeli yenna, bamanye nti nga bwe nabeeranga ne Musa, bwe ndi naawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Yoswa nti, “Olwa leero ŋŋenda okukugulumiza mu maaso g’Abayisirayiri bonna balyoke bamanye nti nga bwe nnali ne Musa, era bwe ntyo bwe ndi naawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Yoswa nti, “Leero n'atanula okukugulumiza mu maaso g'Abaisiraeri bonna, bamanye nti, nga bwe nnali ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba Yoswa nti: “Kye nnaakola olwaleero, kinaaleetera Abayisirayeli bonna okutandika okukussaamu ekitiibwa, n'okukumanya nga ndi naawe, nga bwe nali ne Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Yoswa nti Leero naatanula okukugulumiza mu maaso ga Baisiraeri bonna, bamanye nti, nga bwe nnali ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe.