Joshua 3:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati lagira bakabona abeetisse Ssanduuku y'Endagaano nti: ‘Bwe mutuuka ku lubalama lw'amazzi ga Yorudani, nga muyimirira mu Yorudani.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’otyo onoolagira bakabona abasitula Essanduuko ey’Endagaano nti bwe mutuuka ku mugga Yoludaani, muyimirire buyimirizi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era onoolagira bakabona abasitula essanduuko ey'endagaano, ng'oyogera nti, ‘Bwe munaatuuka ku mabbali g'amazzi aga Yoludaani, munaayimirira mu mazzi ago.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lagira bakabona abasitudde Essanduuko ey'Endagaano nti bwe batuuka mu mazzi g'Omugga Yorudaani, basigale nga bagayimiriddemu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onoolagira bakabona abasitula essanduuko ey'endagaano, ng'oyogera nti Bwe munaatuuka ku mabbali g'amazzi aga Yoludaani, munaayimirira mu Yoludaani.