Joshua 4:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona abaali batwala Ssanduuku baasigalira ddala mu makkati ga Yorudani okutuusa nga byonna Omukama bye yagamba omuweereza we Yoswa abantu babituukirizza, era nga Musa bwe yali alagidde Yoswa. N'abantu ne banguwa, ne basomoka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona abaasitula Essanduuko ne bayimirira wakati mu Yoludaani okutuusa nga Abayisirayiri bamaze okutuukiriza byonna Mukama bye yabalagira ng’ayita mu Musa ne Yoswa. Abantu bonna ne basomoka bunnambiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bakabona abaasitula essanduuko baayimirira wakati mu Yoludaani, ne kituukirira buli kigambo Mukama kye yalagira Yoswa okubuulira abantu, nga byonna bwe byali Musa bye yalagira Yoswa; abantu ne banguwa okusomoka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona abaasitula Essanduuko baayimirira mu Yorudaani wakati, okutuusa byonna Mukama bye yalagira Yoswa okubuulira abantu lwe byatuukirira, nga Musa bwe yali alagidde Yoswa. Abantu ne banguwako okusomoka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bakabona abaasitula essanduuko baayimirira wakati mu Yoludaani, ne kituukirira buli kigambo Mukama kye yalagira Yoswa okubuulira abantu, nga byonna bwe byali Musa bye yalagira Yoswa: abantu ne banguwa ne bayita.